Malachi 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ndisembera gye muli okubalamula. Ndiba mwangu okuwa obujulizi ku balogo, abenzi, abalayira obulimba, abalyazaamaanya empeera y'abapakasi, abanyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, abatayisa mugwira na bwenkanya, n'abatantya, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo, n'eri abenzi, n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya empeera y'omupakasi. Nnamwandu n'atalina kitaawe, n'abawonya era n'abo abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndijja mu mmwe ne nsala omusango. Era amangwago ndirumiriza abalogo n'abenzi, n'abalayira eby'obulimba, n'abalyazaamaanya empeera y'abakozi, n'ababonyaabonya bannamwandu ne bamulekwa, n'abanyaga eby'abagwira, era ndirumiriza n'abo bonna abatanzisaamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, en abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.