Malachi 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuviira ddala mu budde bwa bajjajjammwe mwava ku mateeka gange, ne mutagakwata. Mukomeewo gye ndi, nange nzija kukomawo gye muli, Omukama w'Amagye y'agamba. Naye mubuuza nti: ‘Tunaakomawo tutya?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku nnaku za bajjajjammwe, nga mukyuka n'emukyama okuva ku biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nti, “Tunadda tutya”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe, nga bajjajjammwe, muvudde ku biragiro byange, ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nja kudda gye muli. Naye mwebuuza nti: ‘Tukole ki okudda gy'oli?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya?