Malachi 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu asobola okulyakula Katonda? Naye mmwe mundyakula. Mubuuza nti: ‘Tukulyakula tutya?’ Mu kyekkumi ne mu bitone.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu alinyaga Katonda? “Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’  “Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti, “Twakunyaga tutya?” Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Si kituufu omuntu okunyaga ebya Katonda. Naye mmwe munnyagako ebyange, ate ne mubuuza nti: ‘Tubikunyagako tutya?’ Mubinnyagirako mu bitundu eby'ekkumi ne mu birabo bye muntonera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.