Malachi 4:1 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna, n'abo bonna abakola obubi, baliba bisasiro; awo olunaku olujja lulibookera ddala,” bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku lujja, abo bonna abeekulumbaza era n'aboonoonyi lwe balyokebwa ng'ebisasiro. Ku lunaku olwo balyokebwa ne baggweerawo ddala, obutasigalawo wadde akatundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.