Malachi 4:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe abanzisaamu ekitiibwa, obuyinza bwange obulokola bulivaayo, ne bubaakira ng'enjuba erina amaanyi agawonya mu kwaka kwayo. Muliba ba ddembe, ne mubuukabuuka ng'ennyana eziyimbuddwa mu kisibo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.