Mark 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago, olwava bw'ati mu mazzi, n'alaba eggulu nga libikkuse ne Mwoyo ng'akka ku ye ng'enjiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, n’alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ng’ali ng’ejjiba ng’amukkako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali yakava mu mazzi, amangwago Yesu n'alaba eggulu nga libikkuse n'Omwoyo ng'amukkako ng'ejjiba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, amangwago n'alaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo Mutuukirivu ng'afaanana ng'ejjiba, ng'akka ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago bwe yava mu mazzi, n'alaba eggulu nga liyulise, n'Omwoyo ng'ali ng'ejjiba ng'akka ku ye: