Mark 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna bwe yamala okusibibwa, Yezu n'ajja mu Galilaaya n'alangirira Evangili ya Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira Enjiri ya Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowanne bwe yamala okuggalirwa mu kkomera, Yesu n'ajja e Galilaaya, n'ategeeza abantu Amawulire Amalungi agava eri Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okuweebwayo, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira enjiri ya Katonda,