Mark 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba Simoni ne Andureya muganda we nga basuula akatimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya, Yesu n'alaba Simooni ne Andereya muganda we nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja ey'e Galilaaya, n'alaba abavubi Simooni ne Andereya abooluganda, nga batega obutimba mu nnyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya n'alaba Simooni ne Andereya muganda wa Simooni nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi.