Mark 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatambulako akabanga, n'alaba Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we nga basanirira obutimba mu lyato;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbedaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga bayunga emigonjo.