Mark 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe kyawandiikibwa mu Yisaaya omulanzi nti: “Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, anaakutegekera ekkubo lyo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti, “Laba ntuma omubaka wange akukulembere, ateeketeeke ekkubo lyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kyawandiikibwa nnabbi Isaaya nti, “Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaatandika ng'omulanzi Yisaaya bwe yawandiika nti: “Laba, ntuma omubaka wange akukulembere okukwerulira ekkubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe kyawandiikibwa mu nnabbi Isaaya nti Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go, Alirongoosa oluguudo lwo;