Mark 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu sinaagooga yaabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omugwagwa, amangu ago n'aleekaana nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko omwoyo omubi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, omuntu aliko omwoyo omubi, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'aleekaana nnyo nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko dayimooni omubi; n'akaaba