Mark 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne bawuniikirira, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kino kiki? Enjigiriza eno empya ate ey'obuyinza! Kubanga newandibadde emyoyo emigwagwa agiragira ne gimuwulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Kiki kino? Kuyigiriza kuggya, alagira n'obuyinza n'emyoyo emibi ne gimuwulira!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abaaliwo ne bawuniikirira, nga bwe beebuuzaganya nti: “Ono wa ngeri ki? Enjigiriza ye mpya, ate ejjudde obuyinza! Era alagira emyoyo emibi ne gimuwulira”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti kiki kino? okuyigiriza kuggya! alagira n'obuyinza dayimooni ne bamuwulira.