Mark 1:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'awonya bangi abaali bakwatiddwa endwadde ezitali zimu, era n'agoba n'emyoyo emibi mingi, naye nga taganya myoyo mibi kwogera, kubanga gyali gimumanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yesu n’awonya abalwadde bangi abaalina endwadde ez’enjawulo era n’abaaliko baddayimooni bangi n’ababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba baddayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awonya bangi abalina endwadde eza buli ngeri. N'abaliko emyoyo emibi, n'agibagobako, nga tagikkiriza kumwatuukiriza, kubanga gyali gimumanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba dayimooni bangi n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.