Mark 1:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya mu matulutulu n'agolokoka, n'afuluma n'agenda mu kifo ekyesudde n'abeera eyo nga yeegayirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera ng’obudde tebunnalaba yesu n’azuukuka n’agenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu makya ennyo, ng'obudde tebunnalaba, Yesu n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu kifo eteri bantu n'asabira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'azuukuka ku makya nnyo, obudde nga tebunnalaba, n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu, n'abeera eyo ng'asinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo.