Mark 1:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Tugende n'awalala mu bibuga ebituliraanye, namwo njigirizeemu, anti ekyo kye najjirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abagamba nti, “Tugende awalala mu byalo ebituliraanye, n’abeeyo mbabuulire, kubanga ekyo kye najjirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Tugende awalala mu bibuga ebituliraanye, mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Tugende mu bubuga obulala obuliraanye wano, nayo njigirizeeyo, kubanga ekyo kye najjirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira.