Mark 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna yalinga abatiza mu ddungu ng'ayigiriza batismu ey'okubonerera olw'okusonyiyibwa ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana Omubatiza yajja mu ddungu, n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggyibwako ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo ne Yowanne Omubatiza yajja mu ddungu, n'abatiza abantu, nga bw'abategeeza nti: “Mwenenye, mubatizibwe, Katonda abasonyiwe ebibi byammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi.