Mark 1:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omugenge n'ajja gy'ali n'amwegayirira, n'amufukaamirira, n'agamba nti: “Bw'oyagala, osobola okunnongoosa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omugenge n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omugenge n'ajja eri Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamirira ng'amugamba nti Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.