Mark 1:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Laba nti tobaako gw'obuulira, wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo Musa kye yalagira ng'obukakafu gye bali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bw'amugamba nti: “Kino tokibuulirako muntu n'omu, wabula genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyoleke eri kabona, oweeyo olw'okulongooka kwo Musa bye yalagira okuba omujulirwa gye bali.