Mark 1:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye olwafuluma, ekigambo n'atandika okukyogerako kyere n'okukiralaasa, Yezu nga takyayinza kuyingira mu lwatu mu kibuga, wabula yabeeranga bbali mu bifo ebyesudde. Abantu baagendanga gy'ali nga bava mu buli nsonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omusajja n’atandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, n’okubibunyisa. Yesu n’atasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye n’abeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gy’ali okuva mu njuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omusajja ono bwe yagenda, n'atandika okulaalaasa wonna, nga Yesu bwe yali amuwonyezza. Olw'ekyo nga Yesu takyasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, wabula okubeera ebbali, mu bifo ebitaalimu bantu. Eyo abantu gye baamusanganga, nga bava wonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'afuluma, n'asooka okukibuulira ennyo n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atayinza Yesu okuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye yali bweru mu malungu; ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.