Mark 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna yayambalanga ekyambalo eky'ebyoya by'eŋŋamiya, n'omusipi ogw'olukoba mu kiwato kye; yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ogw'oku ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana yayambalanga ekyambalo eky’obwoya bw’eŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olw’eddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, ne yeesibanga olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne ono yayambalanga ekyambalo ekyakolebwa mu byoya by'eŋŋamiya, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato. Yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, n'olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya enzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.