Mark 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayigirizanga ng'agamba nti: “Emabega wange wajjayo ansinga amaanyi, gwe sisaanira na kufukamira kusumulula lukoba lwa ngatto ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabuuliranga ng’agamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abuulira ng'agamba nti, “Oluvannyuma lwange waliwo ajja, ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula bukoba bwa ngatto ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu yabategeezanga nti: “Waliwo ansinga obuyinza ajja okujja. Sisaanira na kukutama kusumulula buguwa bwa ngatto ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abuulira ng'agamba nti Ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula lukoba lwa ngatto ze.