Mark 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo, Yezu n'ava e Nazareti eky'omu Galilaaya, n'abatizibwa Yowanna mu Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n’ava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya n’ajja, Yokaana n’amubatiza mu mugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja n'abatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo, Yesu n'ava e Nazaareeti eky'omu Galilaaya, n'agenda okubatizibwa Yowanne mu Mugga Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja okubatizibwa Yokaana mu Yoludaani.