Mark 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo n'avaayo, n'ajja mu bitundu bya Buyudaaya n'emitala wa Yorudani; ebibiina ne bikuŋŋaanira w'ali nate, era n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu kitundu kye Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga empisa ye bwe yali n'abayigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu kitundu eky'e Buyudaaya, ne mu kitundu eky'oku ludda olulala olw'Omugga Yorudaani. Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali nate, n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu mbibi ez'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga bwe yayisanga n'abayigiriza nate.