Mark 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yabalaba, n'anyiiga, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yalaba abayigirizwa be kye bakola, n'asunguwala, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe: