Mark 10:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali yaakessa mu kkubo, omu n'amweyuna, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali anaatera okugenda, omusajja najja ng'adduka, n'afukamira wali, n'amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, n'akola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yali ng'atandika olugendo lwe, omusajja n'ajja gy'ali ng'adduka, n'afukamira mu maaso ge, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'agenda mu kkubo, omu n'ajja gy'ali ng'addukana, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti Omuyigiriza omulungi, naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo? Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.