Mark 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiragiro obimanyi: ‘Tottanga; Toyendanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba; Tolyakulanga; Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omanyi amateeka, ‘Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiragiro bya Katonda obimanyi nti: Tottanga muntu, toyendanga, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, tolyazaamaanyanga. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omanyi amateeka, Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.