Mark 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amwekaliriza, n'amwagala, n'amugamba nti: “Okyabulwako kimu: genda, tunda by'olina owe abaavu, obugagga olibeera nabwo mu ggulu, ojje ongoberere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti, “oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yamutunuulira, n'amusiima, n'amugamba nti: “Obulwako ekintu kimu ky'oteekwa okukola. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, olyoke ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti Oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.