Mark 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli ne yennyika olw'ekigambo ekyo; n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina eby'obugagga bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwawulira ebyo, omusajja oyo, n'alabika nga tasanyuse, era n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.