Mark 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu ne yeebunguluza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti: “Nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti, “ Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu ne yeebunguluza abaaliwo amaaso, n'agamba nti: “Abagagga nga kiribabeerera kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!