Mark 10:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo ebyo. Yezu era n'addamu n'abagamba nti: “Obwana, nga kizibu okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti, “Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa be ne bawuniikirira olw'ebigambo bye. Kyokka Yesu n'abagamba nate nti: “Abange, nga kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!