Mark 10:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'ayanukula nti: “Mazima mbagamba nti tewali muntu yaleka nnyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba baana, oba bibanja okubeera nze n'okubeera Evangili,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti, Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'Enjiri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Mazima mbagamba nti buli muntu eyaleka ennyumba ye, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana be, oba ekibanja kye, ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri,