Mark 10:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
atalifuna mu nsi muno mirundi kikumi nnyumba, baganda be, bannyina, bazadde abakazi, abaana ko n'okuyigganyizibwa, ate mu mirembe egirijja obulamu obutaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ataliweebwa emirundi kikumi (100) mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
alifuna mu bulamu buno obw'oku nsi, emirundi kikumi: ennyumba, baganda be, bannyina, abazadde be abakazi, abaana, n'ebibanja, awamu n'okuyigganyizibwa. Era mu biseera eby'omu maaso, alifuna obulamu obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.