Mark 10:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo baali mu kkubo, nga bambuka e Yeruzaalemu, Yezu nga y'abakulembedde; nga bawuniikirivu, abamugoberera nga batya. N'azza ebbali Ekkumi n'Ababiri n'asooka okubabuulira ebigenda okumujjira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya. Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri (12), n'atandika okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaali naye, baali mu lugendo, nga bambuka e Yerusaalemu. Yesu yali abakulembeddemu, ng'abeesuddeko ebbanga. Abayigirizwa be ne bawuniikirira, era abantu abalala abaali babavaako emabega ne batya. Awo n'azza nate abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ku bbali, n'atandika okubategeeza ebyali bigenda okumutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya: Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri, n'atanula okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, nti