Mark 10:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Tuutuno twambuka e Yeruzaalemu; Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira ogw'okufa ne bamukwasa ab'amawanga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mwetegereze, kati tugenda e Yerusaalemu; era eyo Omwana w'Omuntu anaaweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, era bamuweeyo mu b'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga: