Mark 10:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
balimuduulira ne bamufujjira amalusu, balimuswanyuula era balimutta, naye oluvannyuma lw'ennaku ssatu alizuukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta, bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bo bajja kumusekerera, bamuwandire amalusu, bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna, era bajja kumutta. Wabula nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta; bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.