Mark 10:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo ne basembera w'ali, ne bagamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kye tunaakusaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.