Mark 10:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Kye musaba temukimanyi. Muyinza okunywa ekikompe kye nnywa oba okubatizibwa batismu gye mbatizibwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'abagamba nti, “ Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? Oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, oba okubatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze?