Mark 10:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamugamba nti: “Tuyinza.” Yezu n'abagamba nti: “Weewaawo ekikompe kye nnywa nammwe mulikinywa, ne batismu gye mbatizibwa nammwe muligibatizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti, “ Tuyinza.” Yesu n'abagamba nti, “Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo ne bamuddamu nti: “Tusobola.” Yesu n'abagamba nti: “Ekikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, ddala mulikinywako, era mulibatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa;