Mark 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okumuwandiikira ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba nti, “Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba, alyoke agobebwenga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okukola ekiwandiiko ekikakasa bw'agobye mukazi we, olwo n'alyoka amweggyirako ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba; alyoke agobebwenga.