Mark 10:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku mukono gwange ogwa kkono okukibawa si mulimu gwange, wabula kiriweebwa abo be kyategekerwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa.