Mark 10:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkumi bwe baawulira, ne basooka okunyiigira ab'oluganda Yakobo ne Yowanna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekkumi (10) bwe baawulira, ne batandika okusunguwalira Yakobo ne Yokaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira Yakobo ne Yowanne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekkumi bwe baawulira, ne batanula okusunguwalira Yakobo ne Yokaana.