Mark 10:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abayita w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okuba abafuzi b'amawanga bagalaga obuyinza, n'abakulu baabwe babafuza maanyi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abayita, n'abagamba nti, “ Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nti abayitibwa abafuzi b'abantu ab'ensi, baagala kuweerezebwa era ababa n'obuyinza bafugisa bukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abayita, n'abagamba nti Mumanyi ng'abo abaalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka.