Mark 10:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuuka e Yeriko. Bwe yali ava mu Yeriko ng'ali n'abayigirizwa be n'ekibiina kinene, Barutimayo mutabani wa Timayo, omusabiriza muzibe, yali atudde ku kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batuuka e Yeriko bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Battimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be, n'ekibiina ky'abantu kinene, ne batuuka e Yeriko. Bwe baali bavaayo, ne basanga muzibe atudde ku mabbali g'ekkubo, ayitibwa Barutimaayo, eyasabirizanga. Muzibe ono yali mutabani wa Timaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batuuka e Yeriko: bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Batiimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo.