Mark 10:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yawulira nti yali Yezu ow'e Nazareti, n'atandika okukoowoola nti: “Yezu, Omwana wa Dawudi, nsaasira!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atandika okwogerera waggulu n'okugamba nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Barutimaayo oyo bwe yawulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo, n'atandika okwogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Yesu Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atanula okwogerera waggulu n'okugamba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire.