Mark 10:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi ne bamukomako, ne bamugamba asirike, naye ye n'aleekaana nnyo n'okusingawo nti: “Omwana wa Dawudi, nsaasira!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “ Omwana wa Dawudi, onsaasire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire: