Mark 10:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangu ago n'addamu okulaba, n'agenda ng'amugoberera mu kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'amugamba nti, “ Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” amangwago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'amugamba nti: “Kale genda, owonye olw'okukkiriza kwo.” Amangwago, n'asobola okulaba, era n'agenda ne Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.