Mark 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalengera omukunyu ewalako, ogwaliko amakoola, n'alaga gye guli ng'asuubira okusangako akantu; naye bwe yagutuukako, n'atasangako kantu wabula amakoola gokka, kubanga tebwali budde bwa mikunyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala, n'agutuukako, alabe oba nga anaasangako ekibala kyonna, awo bwe yagutuukako, n'atalabako bibala wabula amalagala; kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yalengera omuti omutiini oguliko amakoola, n'agenda okulaba oba nga anaagusangako ebibala. Bwe yagutuukako, n'atasangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka, kubanga si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'atalabako kintu wabula amalagala kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.