Mark 11:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agugamba nti: “Tewabanga akulyako kibala emirembe gyonna!” Abayigirizwa be ne bakiwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu n'agugamba nti, “Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo.” Abayigirizwa be ne bawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agugamba nti: “Okuva kati tewabanga alya ku bibala byo nate!” Ebigambo bino abayigirizwa be ne babiwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.