Mark 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batuuka e Yeruzaalemu. Bwe yayingira mu Kiggwa, n'atandika okugobamu abatunda n'abagulira mu Kiggwa; n'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi n'entebe z'abatunda enjiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu Yeekaalu, n’atandika okugobamu abaali batundiramu n’abaali baguliramu, n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi, n’avuunika n’entebe z’abatunzi b’amayiba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu Yeekaalu, n'atandika okugobamu abaali batunda n'abagulira mu Yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baatuuka e Yerusaalemu, Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'atandika okugobamu abo abaali batundiramu n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batunda enjiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;