Mark 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abayigiriza ng'abagamba nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu eri amawanga gonna?’ Sso mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abayigiriza ng’agamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku y’abanyazi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayigiriza, n'abagamba nti, “ Tekyawandiikibwa nti, ‘ Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna?’ Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ayigiriza abaaliwo nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba abantu b'amawanga gonna mwe banansinzizanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayigiriza, n'abagamba nti Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.